Bannamawulire ba Radio y`obujjajja ku mukutu ogwa 88.8 ne Emmanduso 89.2 bemaze egayangano mu mupiira ogubaddeko nókuluma obugigi oguzannyidwa mu Lubiri lwa Kabaka e Mengo.
Ey’obujajja ewangudde ku goolo 2 – 1, so ng’omwaka ogwayita 2022 baagwa maliri ggoolo 1 – 1, nebagenda mu bunnya era nayo baleemagana neguggwa nga tebamatidde.
Abawuliriza ba CBS bazze mu bungi okuwagira ttiimu zino ate nókulaba ku bakozi bebabadde bawulira obuwulizi.
Goolo ebbiri ezituusizza ey`Obujjaja ku buwanguzi, ziteebeddwa Ssendegeeya Muhammed Byayi taata Jubileewo atebye mu kitundu ky`omuzanyo ekisooka, wamu ne Kamoga Swabul akubye ey`okubiri emaze egobe mu kibya.
Goolo y`Emmanduso eteebeddwa Zzizinga Micheal.
Abawagizi ababadde ku kisawe nga abajuliizi, omupira gunno basigadde bagwogeraako nga ogwe byafaayo era ogubadde omunyuvu.
Mu mbeera yeemu abawagizi ba radio y`obujjaja baliko abamu ku bazanyi ababasambidde obulungi omupira bebafuuye ssente, okuli Ssendegeeya Muhammed Byayi ne Munna Buddu Lukenge Sharif.
Omupiira guno gubadde gugenderedwamu okwongera okuzimba enkolagana y’abakozi mu bitongole eby’amawulire byombi, era omupiira guno guzanyibwa buli mwaka.
Mu ngeri yeemu omupiira guno gubadde gugendereddwamu okwongera okukunga abantu okuggya mu Nkuuka ya CBS egenda okubeerawo ku Sunday nga 31 December, 2023 mu Lubiri e Mengo.
Abawagidde omupiira guno kubaddeko Tangawuzi Tea, CEO wa FUFA Edgar Watson, Counsel Dennis Bugaya, CAFAC Uganda, Omulangira Ggolooba mu kikuubo, RDC we Butambala Lubwama Sulaiman Bukya, omumyuka wa RDC e Bukomansimbi Ssalongo Kalema Fred Pax ne Counsel Magellan Kazibwe.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe