Embeera n’okutuusa kati ya bunkenke oluvannyuma lw’ebiteeberezebwa okubeera bbomu okubwatu mu kibuga ky’eggwanga ekikulu Kampala.
Ebibwatuse bino, bitulikidde okumpi n’ekitebe kya poliisi mu Kampala ate ekirala nekibwatukira okuliraana palamenti.
Mu kubwatuka kuno, waliwo abantu abafiiriddemu naye omuwendo gwabwe tegunnategeerekeka.
Ekitongole kya poliisi ekitegulula bbomu kyanguyeeko okutuuka awagudde enjega eno, era embwa zaayo ziriko n’ekirala ekiringa bbomu kyeziguddeko n’ebakitegulula.
Omwogezi w’ekitongole ekkidduukirize ekya Red Cross Irene Nakasiita, agambye nti ttiimu yaabwe yatuuse mangu awaagudde obuzibu buno era abantu 27 bekbatwaliddwa mu ddwaliro e Mulago ng’embeera yaabwe sinnungi.
Nakasiita agambye nti ku bano 7 bakazi ate 20 basajja.
Omuduumizi wa poliisi enoonyereza ku buzzi bw’imsango Brg. Christopher Ddamulira agambye nti nga poliisi bakuzuula bonna abali emabega w’obulumbaganyi buno.
Eby’okwerinda binywezeddwa okwetoloola Kampala n’emiriraano era abantu bangi naddala abasuubuzi balagiddwa okwamuka ekibuga embeera esooke edde mu nteeko.
Ne palament ya Uganda oluwulidde bino n’eyimiriza entuula zaayo ezibadde ezaleero era ababaka n’abakozi mu palamenti bonna bagaaniddwa okugendayo olwaleero.
Waliwo n’ekiwandiiko kyetulabyeko ekivudde mu Makerere University Business School nga kiwandiikiddwa poliisi nga kikugira abayizi okuyingira ettendekero nga balina ebisawo ebinene ng’abalina ensawo ezitangaala beebokka abakkirizibwa okuyingira nazo.