Ministry ya Uganda ey’ensonga z’amawanga amalala abuulidde parliament nti ebintu ebibalirirwamu obuwumbi bw’ensimbi za Uganda 6 byebyayonoonebwa BannaKenya abaali bekalakaasa, nebookya ekizimbe kya Uganda ki Uganda House mu Kenya era okutudde ekitebe Kya Uganda mu ggwanga eryo.
Ekizimbe kino ekyali kyakaddaabirizibwa, abekalakaasi nebaakiteekera omuliro ng’ennaku z’omwezi 25 June,2024, waali wabulayo ennaku 3 kiggulibwewo mu butongole ng’ennaku z’omwezi 28 omwezi gwegumu ogwa June.
Vicent Bagiire, Omuteesitessi omukulu mu ministry y’ensonga z’amawanga amalala abadde mu kakiiiko ka parliament akalondoola ensonga z’amawanga amalala n’ategeeza nti kontulakita eyali yakwasibwa omulimu gw’okuddaabiriza ekizimbe kino, ayogerezeganya ne kampuni ya Yinsuwa, okulaba oba okuddaabiriza ekizimbe kino kuddibwamu.
Okwekalakaasa kuno okwamala ennaku eziwerako kwakulemberwamu abavubuka abekazaako erya Generation Z, baali bawakanya ebbago ly’etteeka ly’ensimbi eryali lyakayisibwa parliament ya Kenya, nga bagamba nti lyali lyakulinnyisa emisolo era ekyali kigenda okuviirako abavubuka abawera okwongera okubulwa emirimu.
Okwekalakaasa okwasooka okubeera okw’emirembe kwakyuka, nebatandika okwonoona ebintu, omwali ekizimbe kya Uganda Uganda, ekya parliament n’ebirala, wabula byazikiibwa mangu ng’omuliro tegunalaanda.#