Obwakabaka bwa Buganda buwaddeyo emipiira egyókubaka négyebigere eri ttiimu zébika zonna, ezigenda okuvuganya mu mpaka zébika bya Baganda ezómwaka guno 2023.
Ssabasajja Kabaka yasiima nátongoza emipiira gino nga 13 May mu kisaawe e Wankulukuku, era Engabi Ensamba yakuba Enkima goolo 3-1 ate mu mupiira ogw’okubaka Enkima yakuba Engabi Ensamba obugoba 43-30.
Ssentebe wólukiiko oluddukanya empaka zino Katambala Al Hajji Magala Sulaiman, bw’abadde akwasa ttiimu zébika emipiira gino ku mbuga ya Buganda e Bulange e Mengo, agambye nti bingi nga abólukiiko bye bakyateekateeka okuwa ttiimu zino, kyokka nazo zitekeddwa okusitukiramu okukunga abazukulu okujja mu bisaawe empaka zino bwezibeera zakwongera okufuna abavugirizi.
Empaka zébika bya Baganda ezómupiira ogwébigere zigenda kuddamu okuzannyibwa nga 30 ne 31 May, némipiira egyómutendera ogusooka ogwókusunsulamu.
Nga 30 May, Enjobe egenda kuttunka ne Nkula mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu.
Enjobe ezannye ne Nnyonyi Nakinsige mu kisaawe kya Kawanda SS.
Obutiko bwakuzannya ne Nsuma mu kisaawe e Wankulukuku olwo Enkusu ezannye ne Amazzi ga Kisasi mu kisaawe kya Buddo SS.
Enkeera ku lw’okusatu nga 31 May, Entalaganya egenda kuttunka ne Mbwa mu kisaawe kya Kawanda SS.
Empeewo ne Nnyonyi Ennyange mu kisaawe e Wankulukuku.
Envubu ne Nkejje mu kisaawe kya Buddo SS.
Envuma ne Kibe mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu, ate Ennyonyi Endiisa yakuzannya ne Akayozi era mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe