Ng’esigadde ennaku 5 zokka okutuuka ku misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egyokubaawo ku Sunday eno nga 28 Museenene, ebbugumu n’ebifo ewatundibwa emijoozi byongeddwako okwongera okugisembereza abantu mu bitundu.
Emijoozi gitundibwa ku mbuga z’eggombolola zonna mu ggwanga n’ekubitebe byamasaza, nga ebifo ebirala byongeddwako kuliko BKS e Katwe, JP Car Wash mu mulyango gwa Masengere, Pentagon Matugga, CBs e Masaka, BK Photo frames Majestic plaza, Paradise Supermarket e Lukaya, Bico Investments mu Kiseny, Kasenge Ceremonial e Kasenge, Freeman Hyoermarket ku paaka empya n’ewalala.
Emisinde gino gyakuddukikibwa buli omu mun kitundu gyali, okuggyako abatono abayitiddwa n’ebbaluwa okujja mu Lubiri okwewala okusasaanya Covid 19, gigendereddwamu okukwasizaako abantu abalina akawuka ka mukenenya, okubafunira ebyetaago, eddagala n’okumanyisa abalala ku kawuka kano.
Gino misinde gyamulundi gwa 9 ng’ensimbi ezizze zikunganyizibwa ziteekebwa mu byobulamu omuli okulwanyisa nnalubiri, kookolo, fistula, nga kaakano gitunuulidde mukenenya.
Minister w’eby’emizanyo n’okwewummuzaamu mu bwakabaka, Owek Henry Ssekabembe Kiberu, agamba nti kino kigendereddemu okusembeza obujjumbize mu kuguza abantu emijoozi gyemisinde okumpi nabo, era n’asaba abantu okukozesa ennaku ezisigaddeyo okugula omujoozi okuggyayo ekigendererwa kyajo.