Ebbugumu lyeyongedde mu kakuyege w’okuwenja akalulu k’okujuza ekifo ky’omubaka omukyala owa district ye Dokolo, oluvanyuma lw’abakulembeze b’ebibiina byobufuzi okuyingira mu kunoonya akalulu.
Mubamu kubakulembeze b’ebibiina abatuuse mu bitundu bye Dokolo ye president wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi wine, ne FDC Eng.Patrict Amuriat Oboi, bagenze kunoonyeza bantu babwe kalulu.
Omukulembeze w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine agambye nti abantu be Dokolo ke kaseera okulonda abantu bebagala nga tebatekeddwako kazito okuva mu b’ebyokwerinda
Kyagulanyi awabudde abantu be Dokolo nti tebakkiriza okugulibwa ensimbi ,wabula balonde abantu abagenda okunywerera ku mazima.
![](https://cbsfm.ug/wp-content/uploads/2024/03/20240317_204302-300x163.jpg)
Mu ngeri yeemu President wa FDC Eng Patrick Amuriat Oboi agambye nti ab’akakiiko ke by’okulonda basaanye okubayamba baggye ab’ebyokwerinda mu kulonda baleke abantu ba bulijjo balonde abantu bebaagala.
Amuriat agamba nti ab’ebyokwerinda saako abamansamansa ensimbi ezigulirira abalonzi bazze babirabako buli awabadde okuddamu okulonda, nti ku mulundi guno tebaagala kukirabako.
![](https://cbsfm.ug/wp-content/uploads/2024/03/20240317_204634-300x183.jpg)
Abantu 7 bebavuganya ku kifo ky’omubaka omukyala owa district ye Dokolo, mu kalulu akagenda okukubibwa nga 21 March,2024.m okulondako anadda mu bigere by’omugenzi Cecilia ogwal.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif