Abakulu mu kitongole ekisolooza omusolo ekya Uganda Revenue Authority basuubizza nti ebbeeyi y’amafuta esuubirwa okukendeera wakati w’ebitundu 30 – 50% mu mwaka guno omuggya.
Ensonga eno eyanjuddwa Geoffrey Balamaga owa URA abadde ku mukolo gw’okutongoza emmeeri lugogoma eyabbulwamu MT Kabaka Mutebi II, okutandika mu butongole okusaabazanga amafuta okuva e Mombasa okugaleeta mu Uganda.
Agambye nti emmeeri eno bweyagezeseddwa wiiki ewedde okuleeta amafuta, yetisse amafuta mangi ddala, ekikendeeza ku bisale by’okugatambuza nga gayise ku nguudo, ekireetawo essuubi ly’okukendeeza ku bbeeyi kwegatundibwa eri abagoba b’ebidduka.
Balamaga agamba nti emiwendo gy’okusaabaza amafuta nga gayitidde ku mazzi gikkakkanako n’ebitundu 25%.
Wiiki ewedde, emmeeri eno yasaabaza amafuta agaweza liita obukadde buna n’emitwalo ataano.
mu kiseera kino ebbeeyi y’amafuta aga Petrol liita eri wakati wa shs 5100 – 5600 ku masundiro g’amafuta agenjawulo, diesel eri ku wakati wa 4900 – 5300 buli liita.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K