Olukiiko olugenda okwekeneenya eggwanga lya somalia oba lirina ebisaanyizo ebirisobozesa okwegatta ku mukago gw’amawanga g’obuvanjubwa bwa AFrica ogwa East African Community lutongozeddwa.
Olukiiko luno olutongezeddwa ssabawandiisi womukago guno Dr Peter Mutuku Mathuki.
Luriko abakugu okuva mu mawanga ganamukago era lukulemberwa munnansi wa Burundi Tiri Marie Rose.
Olukiiko luno lwakusimba amakanda mu Somalia okumala ennaku 9, era lutandise olwa leero ng’ennaku z’omwezi 25 march okutuuka nga 3 omwezi ogujja ogwa february.
Lugenda kwekennenya engeri somalia gyeyetegeseemu okwegatta ku mukago gwa East African Community.
Ssabawandiisi w’omukago gwa East African community Dr Peter Mutuku Mathuki bwabadde atongoza olukiiko luno, agambye nti alipoota enaava mu kwekeneenya okugenda okukolebwa olukiiko luno, yakwanjulibwa eri olukiiko lwaba minister b’amawanga gannamukago abavunaanyizibwa ku nsonga z’omukago.
Ba minister byebanaaba bazudde byakubyanjulira abakulembeze b’amawanga gannamukago mu nsisinkano yabwe eyokubaayo ku nkomerero yomwezi ogujja ogwa February.
Minister wa somalia ow’ensonga z’amawanga amalala Abshir Omar n’omubaka owenjawulo owa president wa Somalia mu mukago gwa East AFRICA Abdulsalam Omer, bagambye nti somalia netegefu nnyo era eyaayaana nnyo okwegatta ku mukago.
Somalia bweyegatta ku mukago gwa East Africa ,ejja kuweza omuwendo gw’amawanga 8 agali mu mukago guno okuli Uganda ,Kenya , Tanzania , Burundi ,Rwanda ,South Sudan ,DRCongo.#