Offiisi ya Ssabaminister w’eggwanga efunye omuteesiteesi omuggya Dustan Balaba, nga yabadde akulira abakozi nentambuza y’emirimu (CAO) mu district ye Buikwe.
Dunstan Balaba akwasiddwa office okuva ewa Rose Alenga abadde akolanga omuteesiteesi omukulu mu Offiisi ow, ekiseera ,okuva eyali omutesiteesi omukulu Keith Muhakanizi bweyava mu bulamu bwensi eno mu April 2023.
Dustan Balaba abadde COA mu district eziwerako okuli Buikwe gyavudde ,Tororo ,Kabaale ,Mayuge nendala era yabadde ssentebe w’ekibiina ekitaba ba COA bonna mu ggwanga.
Alina obukugu n’obumanyirivu mu ntambuza y’emirimu mu government bwa myaka egisoba mu 30.
Dustan Balaba Offiisi gyakwasiddwa eyomuteesiteesi omukulu mu offiisi ya Ssaabaminister yeemu ku offisi mu government ezizze zirabikiramu obulyi bw’enguzi n’obulyake obwenjawulo, obwekuusa kukubulankanya ebintu by’okuyamba abanaku, okubulankanya ensimbi n’ebirala.
Dunstan Balaba abantu baddidde mu bigere kuliko Pius Bigirimana, Catherine Guwatudde , Omugenzi Keith Muhakanizi n’abalala.#