Owek. Dr Richard Kabanda munnauganda alondeddwa olukiiko olutaba amawanga ga Africa mu byobulamu, okukulembera akakiiko ka Africa akategeka n’okuwa amagezi ag’ekikugu ku by’obulamu ebikwata ku bantu baabulijjo n’okubasomesa ku ndwadde ezenjawulo.
Owek Dr.Kabanda alangiriddwa ku bukulu buno mu ggwanga lya Ethiopia mu kibuga Addis Ababa, mu lukiiko lw’olukungaana lw’amawanga ga Africa olw’okubiri olwatandika nga 8 okutuuka nga 10 November,2023.
Olukiiko luno lwategekeddwa omukago gw’amawanga ga Africa ogwa African Union, n’ekigendererwa eky’okukubaganya ebirowoozo ku ngeri amawanga ga Africa gyegasobola okusitulamu eby’obulamu by’abantu ba bulijjo.
Dr. Richard Kabanda, ye kaminsona mu ministry y’eby’obulamu avunanyizibwa ku kusomesa n’okubangula abantu ku ndwadde ez’enjawulo mu ministry y’eby’obulamu, era azze akulemberamu entegeka z’okusomesa abantu ku ndwadde enkambwe nga Ebola, COVID-19, Marburg nendala nga zibaluseewo mu Uganda.
Dr Kabanda akakiiko kagenda okukulira kayitibwa “Africa Continental Community Health Systems Strengthening Coordination Technical Working Group” era yagenda okuba ssentebe waako omupya, nga kalondoolwa butereevu ekitongole kya Center for Disease control ekya Africa yonna.
Bannabyabulamu okuva munsi ezisoba mu 50 eza Africa bebeetabye mu kulonda erinnya lya Dr. Kabanda, era akakiiko kano obuvunanyizibwa bwako mwekulaba nti amawanga ga Africa gongera okusosowa ebyobulamu ebikwata ku muntu wabulijjo, okusomesa abantu ku kabi k’endwadde ezenjawulo n’ebirala.
Abalala abalondeddwa ku kakiiko kano kuliko Dr Douaa Saleh okuva emisiri (Egypt), Dr. Adjoba Francoise Kadja okuva e Cote d’Ivoire, Dr. Olasford Wiah okuva e Liberia ne ba memba okuva mu bitongole okuli ekya UNICEF, International Federation of Red Cross and Red Crescent societies, (IFRC), Africa Center for Disease control (CDC) ne IFF Health.
Dr. Richard Kabanda gyebuvuddeko era yali yalondebwa okuba omumyuka wa ssentebe w’akakiiko ka Africa akakola ku kumanyisa obulabe obuli mu ndwadde ez’enjawulo aka Africa Public Health Risk Communication and Community Engagement Community of Practice in Africa wakati w’omwaka gwa 2021 okutuuka mu July 2023 era nga nako kaali kalondoolwa ekitongole kya Africa Centre for Disease Control.
Dr. Richard Kabanda munnankobazambogo mukiise mu lukiiko lwa Buganda era nga y’akulira akakiiko akavunaanyizibwa ku by’obulamu.
Bisakiddwa: Ddungu Davis