Ekibiina ekitaba abasawo mu ggwanga ekya Uganda Medical Association (UMA), kironze abakulembeze baakyo abaggya, ng’abadde ssabawandiisi w’ekibiina kino Dr. Hebert Luswata, kati ye president wakyo omuggya.
Dr. Herbert Luswata afunye obululu 287, awangudde Dr. Musana Othiniel ku bululu 253 bye bitundu 53% ku 47% ebyabalonzi.
Omumyuuka wa president w’ekibiina ye Prof Dr. Asiimwe Frank Rubabinda yafunye obululu 285 bye bitundu 53%, ate Dr Odiambo Clara, afunye obululu 255, bye bitundu 47%.
Prof Dr Asiimwe Frank Rubabinda, yabadde akulira abasawo abalongoosa mu Uganda era yoomu ku bateekateeka etteeka erirungamya okusimbuliza kw’ebitundu by’emibiri gy’abantu erya Organ and Transplant Bill.
Dr. Joel Mirembe abadde omumyuka wa president atwala ebendobendo lya Buganda, yawangudde obwa ssabawandiisi w’ekibiina, ng’amezze Dr Nahabwe Alone ne Dr. Nabushawo Faith.
Ekifo ky’omumyuka wa ssabawandiisi wekibiina kikyaliko kalumanywera nga 2 ku basatu ababadde beesimbyewo okuli Dr. Byamugisha Joseph ne Dr. Mugyema David baasibaganye ku bitundu 35% buli omu afunye obululu 190 ate ye Dr. Muwonge Jabura, yafunyewo obululu 160 bye bitundu 30%.
Dr. Kabweru Wilberforce Musoga, yalondeddwa okukulira akakiiko akakwasisa empisa mu kibiina era teyavuganyiziddwa nga yayitawo bulambalamba.
Dr. Asaba Irene Mugisha yalondeddwa ku kifo ky’obuwanika bwekibiina nga amezze Dr. Kalungi Richard Kirumira n’obululu 330 ku 210.
Dr. Mwesigye Ismael, eyakola akatambi ka “twagala ssente z’abasawo, ssitwagala kutunyonyola”, alondeddwa okukulira akakiiko akakulembera ebyenkulakulana n’ebyensimbi mu kibiina era nga naye tewali yamwesimbako ku kifo kino era yayiseewo busimbalala.
Dr. Muyanga Andrew Mark, yaalondeddwa okuba omwogezi w’ekibiina ng’amezze Dr. Amamya Flavia Tumwebaze, n’obululu 325 ku 215 bye bitundu 60% ku 40%.
Abalala abalondeddwa ku lukiiko kuliko Dr. Ssekyanzi Livingstone eyawangudde Dr. Akiyo Fidel ku kyembeera z’abasawo n’obululu 394 ku 146.
Dr. Asiphas Owaraganise yagenda okukulira abaliko obulemu nga teyavuganyizibwa muntu mulala yenna.
Mukwogerako ne Dr. Joel Mirembe, ssabawandiisi w’ekibiina kyabasawo omuggya, agambye nti bakufuba okulaba nti mukisanja eky’emyaka ebiri embeera z’abasawo zikyuka nokulaba nti ba medical intern, ssente zaabwe ezaabajjibwako zibaddizibwa.
Agambye nti bakulaba nti government ewandiisa abasawo abalala mu malwaliro gaayo ag’enjawulo n’okuteekesa mu nkola enteekateeka yokuwandiisa abasawo nga bwekyayisibwa wakiri buli ddwaliro okuba n’omusawo ku daala ly’obwa Doctor.
Bisakiddwa: Ddungu Davis