Eyaliko president w’ekiibina kya Forum for Democratic Change( FDC) Dr Warren Kiiza Besigye awadde ensonga 3 eziyina okukolebwa okuzza obumu mu banakibiina abekutuddemu ebiwayi.
Agambye nti walina okussibwa akakiiko akeetengeredde akakwasa empisa mu kibiina , okuwummuza abakulembeze abasiwuuse empisa, n’okuteekawo abakulembeze abakiseera okubaddira mu bigere, era nga biyina ku kolebwa mu tabamiruka w’ekibiina owa National Delegates Conference.
Bino abogeredde ku Lanova Hotel mu kibuga Masaka munsisinkano gyabaddemu nebakakibiina kya FDC okuva mubendobendo lye Masaka.
Mu ngeri yeemu Dr Besigye asekeredde abamu ku banakibiina Kya FDC abasinziddde E Najjanakumbi nebawa ssentebe w’ekibiina Wasswa Biriggwa esaawa 48 okusazaamu tabamiruka gweyayise mu mwezi guno ogwa september 2023.
Endoliito mu FDC zaasajjuse oluvannyuma lw’abamu ku bakulembeze okulumuriza president wabwe Patrick Amuriat Obbo ne ssaabawandiisi okubeera mu lukwe lw’okutunda ekibiina mu government ya NRM ekulembera eggwanga.
Bisakiddwa:Juuko Derrick