Ssaabawaabi w’emisango gya government Jane Frances Abodo ategeezezza nti bagenda kujulira ku nsala ya Kkooti enkulu eyejjeerezza Abubakar Kalungi, mu musango gw’okutemula eyali omuduumizi wa Police ye Buyende ASP Mohammed Kirumira ne munne Resty Nalinnya.
Kkooti enkulu mu Kampala ng’ekulembeddwamu omulamuzi Margret Mutonyi yejjeerezza Abubakar Kalungi omusibe yekka abadde avunaanibwa omusango gwokutemula ASP Mohammed Kirumira ne mukwano gwe Resty Nalinnya.
Kooti yategeezezza nti ekitongole kya ssabawaabi w’emisango gya government kyalemererwa okuleeta obujulizi obumatiza, okusingisa Kalungi omusango gw’obutemu.
Abodo agambye nti baabakanye dda ne kaweefube w’okujulira ensala eno nti kubanga obujulizi bwebalina babwekakasa nti bulumiriza butereevu Kalungi okwenyigira mu ttemu lino.
Mu September 2018, Afande Kirumira ne munne Resty Nalinya gweyali atutteko mu mmotoka mu bitundu bye Bulenga mu Wakiso baakubwa amasasi agabattirawo.
Police nébitongole ebikessi mu ggwanga byasitukiramu nebikwata Karungi, nga birumiriza nti yeyali atambulira ku pikipiki eyakozesebwa okuwondera n’okubatemula, wabula kkooti yakizudde nti okunoonyereza kwa Police kwali kwa kiboggwe.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam