Kooti ento ey’e Kasaangati asindise eyali ssenkulu wa KCCA Dorothy Kisaka n’eyali omumyuka we Eng.David Luyimbaazi mu kooti enkulu, batandike okuwerennemba n’emisango 57, nga gyonna gyekuusa ku bulagajjavu obwaviirako abantu abasoba mu 35 okufa, abalala nebasigala nebagenda n’ebisago eby’amaanyi.
Kigambibwa nti ababiri bano baalemererwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwa wofiisi zabwe wadde nga baali bafunye okulabulwa okwenjawulo ku ntuumu ya kasasiro we Kiteezi eyali asuliridde okuvaako obubenje.
Nga 10 August,2025 yayiimbulukuka naaziika amayumba nemufiiramu abantu.
Kigambibwa nti abakulu bano baafuna alipoota eziwerako okuva mu ba Engineer ba KCCA, auditors, ne NEMA wabula nebeesuulirayo ogwa nnaggamba.
Alipoota ziraga nti ekifo kino ekyali kiyibwamu kasasiro e Kiteezi kyatandikibwawo mu 1996, era nekijjula mu 2013, wabula kasasiro yagenda mu maaso n’okuyiibwayo okumalq emyaka emirala egisoba mu 10, okutuusa kasasiro lweyakola olusozi olwayiigulukuka mu August 2024.
Buli mwaka kyali kiyiibwamu kasasiro aweza ttani 450,000.#
Bisakiddwa: Betty Zziwa