Ekibiina kya Democratic Party kirangiridde eri abantu bonna abagala okwegatta ku kibiina kino ne ba memba bonna abagala okuzza obuggya obwa memba bwabwe baseemu okusaba kwabwe balyoke bateekebwe ku alijesita.
Ssaabawandiisi wa Democratic Party Dr.Gerald Siranda abadde mu lukungaana lw’amawulire ku kitebe ky’ekibiina mu Kampala n’ategeeza nti waliwo ffoomu eteereddwawo ba memba ba DP gyebalina okusooka okujjuza nga basaba bateekebwe ku alijesita y’ekibiina.
Siranda agambye nti bagenda kusooka kutuuza Ttabamiruka w’ekibiina nga 19ne nga 20 April,2024 e Mbale, n’oluvannyuma enteekateeka z’okuzza obuggya alijesita z’ekibiina zitandike.
Agambye nti enteekateeka eno yakubayamba okumanya abantu abatuufu abagala Democratic Party ku mutima, sso ssi abagyerimbikamu nga balina byebagala okwekkusa ng’abantu.
Mu ngeri yeemu enteekateeka z’okukyusa obukulembeze bw’ekibiina zigenda mu maaso, era ng’abanesimbawo ku bwa president bakusasula obukadde bwa shs 20, Omumyuka wa prsident obukadde 15, SsAabawandiisi w’ekibiina obukadde 15, ate amyuka Ssabawandiisi obukadde 10, n’abalala.
Ssabawandiisi w’ekibiina kya Dp Dr Gerald Siranda agambye nti kino bakikoze okuggya banna byabufuzi abazannyisa ekibiina, bagala abo bokka abalina embavu abasobola okulwanirira ekibiina mu mbeera yonna bebaba besimbawo.
Siranda asabye banna Dp obutatya sente zino nti kubanga kikoleddwa okulaba obumalirivu abegwanyiza ebifo bwebalina okuzimba ekibiina.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico