Abaddukanya Bus ya kampuni ya Link ezisabaaza abantu bayimirizza ku mulimu ddereeva wabwe Jjemba Andrew, olw’okulagajalira obulamu bw’abasaabaze, oluvannyuma lw’okukwatibwa ku katambi ng’anyiganyiga essimu ye okumala akaseera, nga bus etambula.
Akatambi ak’oleka eneeyisa ya Jjemba Andrew kakwatibwa omu ku basaabaze abaali mu Bus.
Okusinziira ku mwogezi wa Bus za Link Tom Best Aliinde, ddereeva wabwe ono abadde avugira ku luguudo oluva e Kampala okudda e Fortportal okutuuka e Kasese.
Agambye nti ekibeewunyisizza kwekuba nti Jjemba ne banne bakava mu musomo ogw’enjawulo okubabangula ku bikwata ku mulimu gwabwe, naddala ku nneyisa yokunguudo.
Tom Best Aliinde era ategezeza nti okunonyereza kuneyisa ya ddereeva ono kugenda mu maaso, yakwasiddwa police nga bakolaganira wamu ne ministry evunaanyizibwa ku nguudo n’ebidduka era ekyankomeredde kyakulangirirwa.
Police ezze erabula abantu okukomya okuvuga ebidduka nga boogerera ku ssimu, wamu n’okuseereza ku ssimu nga balaba obutambi, ebifaananyi n’obubaka obwenjawulo obussibwa ku mikutu emigatta bantu, ebiviiriddeko obubenje obwenjawulo obuva ku kuvugisa ekimama.
Tom Best Alinde asabye abasaabaze abalala bonna abatambulira mu mmotoka naddala ez’olukale, okuloopa ba ddereeva abavugisa ekimama ekiteeka obulamu bwabwe mu katyabaga.#