Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Cricket mu Uganda ekya Uganda Cricket Association, kikakasiza nti ttiimu y’eggwanga eya Cricket Cranes yetegese era egenda kusitula mu kiro ky’olw’okusatu okugenda mu West Indies okwetaba mu mpaka z’ensi yonna eza T20 Cricket World.
Minister omubeezi ow’ebyemizannyo Peter Ogwanga nga ali wamu n’abakungu ba National Council of Sports ne Uganda Cricket Association, bebakoze omukolo gw’okusiibula ttiimu eno e Lugogo mu Kampala.
Empaka zino Cricket Cranes egenda kuzetabamu omulundi gwayo ogusookedde ddala era eri mu kibinja C ne New Zealand, Afghanistan, Papua New Guinea n’abategesi aba West Indies.
Ttiimu eno egenda kutambula n’abazannyi 15 okuli nabakungu 9, nga Brian Masaba yeyakakasibwa ku bwa captain bwa ttiimu eno ‘amyukibwa Riazat Ali Shah.
Abazannyi abalala ku ttiimu eno ye Simon Ssesazi, Roger Mukasa, Frank Nsubuga, Henry Ssenyondo, Juma Miyagi, Kenneth Waisswa nabalala.
Empaka za T20 Cricket World Cup zigenda kubeerawo okuva nga 01 okutuuka nga 29 June 2024 mu West Indies ne USA
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe