Ttiimu ya Uganda ey’omupiira ogw’ebigere eyabakazi eya Crested Cranes ewanduse mu mpaka ez’okusunsulamu amawanga aganaakiika mu Women Africa Cup of Nations ez’omwaka 2024 bw’egudde amaliri ne Algeria ga goolo 1-1.
Omupiira guno guzannyiddwa mu kibuga Oran ekya Algeria mu kisaawe kya Stade Olympic D’Oran.
Ggoolo ya Crested Cranes ebadde yakusimula peneti eteebeddwa Fauzia Najjemba mu dakiika eye 68.
Algeria eyiseewo okugenda ku mutendera ogusembayo ogw’okusunsulamu ku mugatte gwa goolo 3-2, kuba oluzannya olwasooka mu Uganda, Algeria yaluwangula goolo 2-1 mu kisaawe e Njeru.
Crested Cranes enaddemu; Ayub Khalifah Kiyingi omutendesi, omukwasi wa goolo ye Vennesa Kalungi, Asia Nakibuuka, Sumayiyah Komuntale, Sandra Nabweteme, Hasifah Nasuuna, Phionah Nabbumba, Viola Nambi, Joan Nabirye nabalala.
Uganda ebadde erwana okukiika mu mpaka za Women’s Africa Cup of Nations omulundi ogw’okubiri kyokka tekisobose, nga yasooka kukiika mu 2000.
Bisakiddwa: Isa Kimbugwe