Ministry y’ebyobulamu ekakasizza nti Covid19 tanaddamu kubalukawo mu Uganda,wabula banansi baabuddwa okuddukira nga mu malwaliro okwekebeza ekirwadde kino n’omusujja gw’ensiri singa balaba embeera etali yabulijjo mu bulamu bwabwe .
Abakulu mu ministry y’ebyobulamu bakyaliddeko president okumunnyonyola embeera bweyimiridde mu ggwanga.
Bino bijidde mu kiseera kino ng’ebifuba, senyiga n’omusujja biyitiridde obungi.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa ministry y’ebyobulamu nga kiteereddwako omukono gwa Dr Henry Mwebesa akulira ebyobujanjabi mu ministry, ebifuba nesenyiga ebiriwo ensangi zino byabulijjo era birina seasons bbiri.
Sizoni esooka ebeerawo okutandika mu mwezi gwa February okukoma mu june, endala nebeerawo okuva mu mwezi gwa August okutuuka mu November.
Abaana abali wansi w’emyaka 5, abasomi n’abantu abakulirirdde mu myaka bebasinga okukosebwa mumbeera eno.
Ministry erabudde abantu abalina obubonero omuli okulumizibwa omutwe, ekifuba ekikalu, okunafuwa kw’omubiri, okulumwa omusujja nebirala obutekuumira waka baddukirewo mu malwaliro bekebejjebwe, wamu n’okujjumbira okwamaba mask nga bali mu bifo eby’olukale.
Dr. Henry Mwebesa era alabudde banansi okunnyikiza obuyonjo mu bitundu gy’ebawangalira, okwewala omujjuzo gw’abantu, n’okujjumbira okufuna booster dose oba empiso ey’okusatu ey’ongera okunyweza obusirikale mu mubiri mukulwanisa ekirwadde kya Covid19.
Bisakiddwa: Kiyengo David