Akabi kakubye nate, ekirwadde kya Covid19 kyongedde okufutubbala ku nsi yonna bwe wazuuliddwaayo akawuka ka Coronavirus akómutawaana ennyo, bannassaayansi ke batuumye Omicron.
Akawuka ako akaafubutuse e South Africa kasasaana ku misinde miyitirivu era ekitongole kyénsi yonna ekyébyobulamu kirabudde ku mutawaana ogwolekedde omwana wómuntu, ne kirabula nti kano akawuka tekamanyi buli bwonna obwasookawo.
Bannasaayansi bagambye nti akawuka kano okumanya ka bulabe nnyo, kaalula nnyo ate kekyusakyusa buli kadde, era beekengedde nti eddagala eririwo erigema lumiimamawuggwe liyinza obutakasobola.
Akawuka Omicron baasoose kukazuula South Africa jjuuzi kulwokusatu ennaku nga 2 eziyise, wabula mu nnaku ezo zokka kongedde okusasaana, kaatuuse dda mu mawanga agaliranye South Africa nga Botswana, ne mu Belgium, Hong kong ne Israel.
Embeera eno etiisizza amawanga mangi nókusinga ennyo mu Bulaaya, era wówulirira bino batadde envumbo ku South Africa námawanga agómuliraano nga Botswana, Namibia, Eswatin, Zimbabwe, Lisutu, Mozambique ne Malawi, kati tebakyakkiriza muntu yenna ava mu ggwanga eryo, amawanga agamu tegakyasindikayo nnyonyi, amalala gataddewo obukwakkulizo bwa maanyi nnyo ku muntu yenna ava mu mawanga ago nga bazooka kumwekebeggya nnyo nókusooka okumuggalira mu kalantiini.
Bungereza, America námawanga agamu aga Bulaaya ge gasoose okussaawo obukwakkulizo ku bantu abava e South Africa.
Prof James Naismith kakensa okuva mu Oxford University eya Bungereza, agambye nti ensi yonna esaanye okwerinda ennyo ekika ky’akawuka kano era tebakakasa nti eddagala eririwo linaasobola okukavumula, kyokka nátegeeza nti kikyetaagisa obudde bamale okwekenneenya nókuvumbula ebiggya ebikwata ku kawuka ako.