
Bya Issah Kimbugwe
Club 3 okuli Black Power, Maroons ne Kyetume zisuumusiddwa okuzannya mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League season ejja 2022/23.
Zivudde mu kibinja eky’okubiri ekya FUFA Big League.
Black Power eyiseewo nga bebantamegwa ba Big League season eno,ekubye Luweero United goolo 2-1.
Kyetume ekubye Kataka goolo 3-2.
Maroons ekubye Nyamityobora goolo 5-0.
Ndejje University ekubye Kitara goolo 5-0.
Omupiira gwa Calvary ne MYDA teguzanyiddwa olwa MYDA obutalabikako.
Black Power ewangudde liigi n’obubonero 39.
Maroons ekutte kyakubiri, ate Kyetume ekutte kyakusatu.
Club endala 3 okuli Nyamityobora, Proline ne MYDA zisaliddwako okuva mu Big League zizeeyo mu Regional League.