Club ya SC Villa Jogo Ssalongo yesozze oluzannya olwa quarterfinals mu mpaka za Uganda Cup.
Villa ewanduddemu club ya Onduparaka ku goolo 1-0.
Goolo yq Villa Jogo Salongo eteebeddwa omuzannyi Benson Muhindo mu kitundu ekisooka.
Omupiira guno gibadde mu kisaawe kya Green Light mu Arua.
Villa Jogo yakawangula ekikopo kino emirundi 9.
Kati yegasse ku club endala ezatuuka ku luzannya lwa quarterfinals okuli Vipers, BUL, Wakiso Giants, Mbarara City, Mbale Heroes, Booma ne Maroons.
Ate emipiira egizanyidwa mu liigi ya babinywera eyómupiira gw’abakazi, Lady Doves ekubye Rines goolo 2-1.
Kampala Queens eremaganye ne She Corporate goolo 2-2.
Uganda Martyrs ekubye UCU Lady Cardinals goolo 1-0.
Kawempe Muslim eremaganye ne Olila High 0-0.
Tooro Queens eremaganye ne She Maroons goolo 1-1.
Mu kiseera kino club ya She Corporate esigadde ekulembedde liigi eno nóbubonero 21, esingako Kampala Queens eri mu kifo ekyókubiri obubonero 5.