Olukiiko oluteekateeka okulamaga kw’abajulizi e Namugongo okw’omwaka guno 2023 e Nakiyanja ku ludda lw’a bakulisitaayo lutandise enteekateeka z’emikolo egisuubirwa okuwemmenta obukadde bwa shs 600.
Entegeka zikulembeddwamu Omulabirizi wa Bukedi, Bishop Samuel Bogere Egesa, era ssentebe w’olukiiko lwabalabirizi abava mu buvanjuba bwa Uganda, olumanyiddwa nga Eastern Cluster, abakulembeddemu okutegeka ebikujjuko bya Namugongo omwaka guno.
Bishop Egesa agambye nti president Museveni yaasuubirwa okuba omugenyi owenjawulo ku mikolo ye Gen. Yoweri Kaguta Museveni, sso ng’okusaba kwakukulemberwamu ssabalabirizi wekkanisa ya Uganda Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu.
Bishop Egesa agambye nti bamaze okwogereganya ssabalabirizi w’ekkanisa ya North America, The most Rev. Dr. Folley Bich, okukulemberamu okubuulira.
Omumyuka wa ssabaminister era minister avunanyizibwa ku nsonga z’amawanga ga Africa era nga yaakulira olukiiko olukozi mukutekateeka okulamaga kuno, Rebecca Alitwala Kadaga, ategezeeza nti beetaga obukadde 600 okutegekera abantu bonna.
Kadaga agambye nti bategeseewo ekijjulo ekyenjawulo nga 11 omwezi ogujja ogwa May ku Grand Imperial Hotel mu Kampala, okusonderwako ensimbi okuteekateeka ebikujjuko bya Namugongo.
Ssentebe w’olukiiko olukulakulanya Namugongo era nga ye mulabirizi wa Central Buganda eyawumula, Emeritus Jackson Matovu, akakasiiza nti obutafanana na mwaka guwedde, okusaba kwakubeera mu kifo ekiyooyoteddwa ekimanyiddwa nga Ampi-theatre, nga naamazzi agagambibwa okuba agoomukisa gatindiddwa bulungi.
Abantu abasoba mu mitwalo 40,000 bebasuubirwa ku mikolo gy’omwaka guno nga 03 June,2023 e Namugongo Nakiyanja.
Bisakiddwa: Ddungu Davis