Munnauganda omuvuzi w’eggaali z’empaka Charles Kagimu awangulidde Uganda omudaali gwa zaabu mu mpaka za All African Games eziyindira mu e Ghana.
Charles Kagimu omudaali guno gwawangudde guwezeza emidaali gya zaabu 2 Uganda gye yakawangula mu mpaka zino.
Abasoose okuwangula omudaali gwa zaabu ye Hussina Kobugabe ne Gladys Mbabazi mu mpaka za Women’s Double eza Badminton.
Uganda kati omugatte yakawangula emidaali 8 okuli egya zaabu 2, egya feeza 3 n’egyekikomo 3.#