Kkoooti enkulu mu Kampala esazeewo eggoye; egambye nti government ya Uganda yakola kikyamu okuwera ekitongole kyóbwannakyewa, ekya Chapter 4 Uganda nga tesoose kunoonyereza.
Omulamuzi Musa Ssekaana mu nnamula ye agambye nti okuggala ekitongole kino, kwalimu okupapirira; kubanga government yalina okusooka okunoonyereza n’okwekkaanya okwéssimba ku mirimu gy’ekitongole ekyo, nga tenakiggala.
Omulamuzi Ssekaana awadde nsalesale wa mwezi gumu eri ekitongole kya Govt ekirungámya ebitongole byóbwannakyewa ekya NGO Bureau, okuwuliriza ensonga za Chapter4Uganda, era kizigonjoole mu mazima nóbwenkanya.
Nga ennaku zomwezi 18 August omwaka oguwedde; government ya Uganda ngéyita mu kitongole kyayo ekya NGO Bureau, yasooka kuggala ekitongole kyóbwannakyewa ekya Chapter 4 Uganda ekikulirwa munnamateeka Nicholas Opio, oluvannyuma eryoke ekinoonyerezeeko ku nkola y’emirimu gyakyo.
Chapter 4 Uganda; yaggalwa nébitongole ebirala 53 ebyóbwannakyewa, nga Govt erumiriza nti enkola zaabyo zikontana námateeka ga Uganda.
Government ebirumiriza okulemwa okulaga ennyingiza zaabyo okumala ebbanga lya myaka 5 egiyise.
Wabula ekitongole kya Chapter 4 Uganda, nakyo kyasalawo okuddukira mu kooti nga kigamba nti ebintu byonna gpvernment byeyekwasa okukiggala kyali kyabituukiriza bulungi.