Ttiimu y’eggwanga eyómupiira ogwébigere eya Uganda Cranes, etuuse mu kibuga Annaba ekya Algeria, gyégenze okwetaba mu mpaka za Africa Nations Championships Chan.
Empaka zigenda kutandika nga 13 omwezi guno ogwa January okutuuka nga 4 omwezi ogujja ogwa February.
Ttiimu eno etuukidde ku kisaawe kya Houari Boumediene mu kibuga Algiers.
Eyaniriziddwa omubaka wa Uganda mu Algeria John Chrysostom Alintuma Nsambu.
Uganda Cranes amakanda egakubye ku Hotel Ben Mustapha Aouda.
Tiimu eno okugenda mu Algeria evudde Tunisia gyébadde yakuba enkambi okwongera okutendekebwa okwetegekera empaka za Chan.
Uganda e Tunisia yazannyiddeyo emipiira egyómukwano 3 okwabadde okuzannya ne Cameroon, Sudan ne Mali wabula gyonna yagudde maliri.
Uganda Cranes mu mpaka za Chan eri mu kibinja B ne Dr Congo, Ivory Coast ne Senegal era egenda kuzannya omupiira gwayo ogusooka ng’ettunka ne Democratic Republic of Congo nga 14 omwezi guno.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe