Uganda, Kenya, Tanzania ne Zanzibar balondeddwa okutegeka empaka ez’omupiira ogw’ebigere eza CHAN Championships ezigenda okubeerawo mu September,2024.
President w’ekibiina ekiddukanya omupiira e Tanzania, Wallace Karia, yakakasizza amawulire gano mu ttabamiruka w’ekibiina ekya Tanzania Football Federation.
Empaka zino zigenda kuyambako Uganda, Kenya ne Tanzania okuzuula bwebayimiridde mu kwetegekera empaka za Africa Cup of Nations ez’omwaka 2027.
Kinnajukirwa nti president wa Eng Moses Magogo, yakakasa nga bwe batekayo okusaba okw’okutegeka empaka za Chan newankubadde CAF ebadde tenaba kulangirira mu butongole kunsonga eno.
Empaka za Chan zetabwamu abazannyi bokka abazannyira ewaka, era mu mpaka za 2024 ekitundu kya CECAFA kigenda kukiikirirwa Uganda, Kenya ne Tanzania n’amawanga amalala aganaayita mu kasengejja.
Kenya yawebwako ku mukisa ogw’okutegeka empaka za Chan mu 2018, oluvannyuma n’egujigyibwako olw’okuba yali teyetegese kimala.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe