Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere ey’abazannyi abatasussa myaka 18 etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka za CECAFA U18 Boys Championships, ekubye Zanzibar goolo 2-1.
Omupiira guno guzanyidwa mu kisaawe kya Bhukungu mu kibuga Kakamega, era omuzannyi Travis Mutyaba yatebedde Uganda ate goolo ey’okubiri ebadde yakyeteeba.
Mu kibinja kye kimu B, South Sudan ekubye Tanzania goolo 2-1.
Mu kibinja kino, ttiimu zonna zisibaganye ku bubonero 3, Tanzania, Uganda, South Sudan ne Zanzibar, era buli ttiimu esigazza omupiira gumu gwokka okumalako ekibinja.
Empaka zino zigenda kuddamu okuzannyibwa ku Friday nga 01 December,2023 n’emipiira 4.
Uganda yakuzannya ne South Sudan, omupiira gweyetaaga ennyo okuwangula bwebeera yakuva mu kibinja.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe