Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, kyeyamye okuwaayo ensimbi za dollar za America 1000 eri buli muzannyi eyabadde ku ttiimu ya U18 eyawangudde ekikopo kya CECAFA U18 Boys Championships mu mpaka ezabadde e Kenya.
Ensimbi zino zikakasiddwa omukungu wa FUFA, Rogers Byamukama, era zigenda kuweebwa abazannyi n’abatendesi ababadde mu mitambo gya ttiimu, nga kitegeeza nti buli muntu wakufuna ensimbi obukadde bwa shs 3 n’omusobyo.
Uganda yawangudde ekikopo kya CECAFA U18 Boys Championships oluvannyuma lw’okukuba abategesi aba Kenya goolo 2-1.
Empaka zino zazanyiddwa mu bibuga 2 okuli Kisumu ne Kakamega, era ttiimu 8 zezavuganyizza.
Ttiimu ya Uganda yabadde etendekebwa Morley Byekwaso.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe