Ekibiina ekiddukanya omupiira mu bitundu by’obuvanjuba namasekati ga Africa ekya CECAFA kifulumizza ensengeka y’emipiira egy’empaka za CECAFA Women Championsips.
Empaka zino zaali zakutandika nga 25 omwezi guno ogwa May, zakyusiddwa kati zakutandika nga 1 okutuuka nga 11 June 2022,ku kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru era ensi munaana zezigenda okuvuganya.
Abategesi aba Uganda bagenda kuggulawo ne Rwanda, Burundi ettunke ne Djibouti,bali mu kibinja A era gyakuzanyibwa nga 1.
Enkeera nga 2 wakubeerawo emipiira egy’ekibinja B nga Zanzibar ettunka ne Ethiopia, ne Tanzania ettunke ne South Sudan.
Emipiira egy’ekibinja gijja kukomekerezebwa nga 6, olwo omupiira ogwakamalirizo gubeerawo nga 11 June.
Uganda ne Burundi mu mpaka zino zigendereddemu okwetegekera empaka za Africa Women Cup of Nations ezigenda okubeera e Morocco omwaka guno mu July.
Empaka za CECAFA Women Championships zasembayo kubeerawo mu 2019 era Kenya n’eziwangula, wabula Uganda tewangulangako ku mpaka zino.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe