Ba memba ba CBS Nsonga fans club bongedde omutindo ku muwogo gwebalima,mu kawefube w’okwekulakulanya n’okukuuma obumu nga bwebongera n’okuwuliriza CBS.
Muwogo ono gwebalima bamukaza nebakolamu obuwunga, bwebagattamu ebirungo ebirala omuli soya.
Olunaku olwokubiri CBS Nsonga fans club baluwaayo okulimira awamu nga ba memba, bwemaliriza okulima nebakungaanira mu maka g’omugenzi Yonasaani Nviiri,buli omu nebatereka akasete kasobodde.
Ssentebe wa CBS Nsonga Fans Club Latif Wanyale agambye nti basisinkana okutema empenda ez’okwongera okunoonyeza eby’amaguzi byabwe akatale, ate n’okukubiriza ba memba n’abatuuze be Nsonga okunywa obuugi buno olw’ebiriisa ebibulimu.
Omuyima w’ekibiina kino era nga ye mutuba I Nakisunga Ssekamatte Ronald,abakubirizza okukuuma omutindo n’okwongera obuyiiya mu byebakola, okwongera okufunamu ensimbi ezegasa okwekulakulanya.
CBS Nsonga Fans Club esangibwa mu ssaza Kyaggwe mu district ye Mukono Ssaabagabo Kiyoola.