Radio Buganda CBS FM ezizza bujja enkolagana yaayo n’e kitongole kya Norway, ekya Norwegian Agency for Exchange Cooperation mwebayita okuwanyisiganya abavubuka abalina obukugu obwenjawulo, nabaakava mu mussomero, okutumbula embeera zabwe nébitundu gyebawangaalira.
CBS FM endagaano gyeyasooka okukola nékitongole kino yali ya myaka 5 , era mwebayita okuweereza abavubuka 2 mu Norway okufuna obukugu mu bintu ebitali bimu, omuli ebyobuwangwa, Technologiya nengeri yokulakulanyamu ebitundu gyebabeera.
Norway okuyita mu kitongole kya Norwegian Agency for Exchange Cooperation wamu ne Stromme Foundation, nabo bakuleeta abavubuka 2 okuweerereza mu kitongole kya CBS Pewosa NGO.
Abakungu okuva mu kitongole kya Norwegian Agency for Exchange Cooperation okubadde omuwi w’amagezi Marit Erdal, n’omulondoozi w’e nteekateeka Oivind Armando Reinertsen basisinkanyemu senkulu wa CBS omukungu Micheal Kawooya Mwebe mu wofiisi ye ku Masengere okwongera okuttaanya ku nteekateeka eno.
Omukungu Kawooya Mwebe agambye nti enteekateeka eno ekyusizza nnyo entambuza y’e mirimu mu bitongole bya Ssaabasajja ebitali bimu, era bakwongera okugikwata obulungi bongere okujjamu ebibala.
Akulira okulondoola emirimu mu kitongole kya Norwegian Agency for Exchange Cooperation Oivind Armando Reinertsen atenderezza CBS FM olwolwenyigira mu kukyusa embeera z’a bantu.
Akulira CBS Pewosa NGO, Florence Luwedde agamba nti bakukozesa program eno okutwala ekitongole kya Cbs Pewosa NGO mu maaso, n’okusomesa abavubuka emirimu gy’omikono okwekulakulanya n’ebitundu gyebabeera.
Bakyaddeko e Nanziga ku kifo Abaana abawala webasomesebwa okutunga engoye n’okusiba enviiri.
Abaana bano Bali mu project eyitibwa ‘BONGA’.
Mu nkolagana eno, ekitongole kya CBS PEWOSA kyakutumbula enkola yémirimu gyakyo nébitundu mwebakolera, nga bawanyisa obukugu ne bannabwe abava e Norway.