Akazannyo ka CBS Bbingwa kakomekerezeddwa ku Kisawe Kya St Mary’s Stadium e Kitende, abamegganyi mwebattunkidde mu kuddamu ebibuuzo ebikwata ku by’emizannyo egyenjawulo, wakati mu Namungi w’omuntu.
Akazannyo ka Bbingwa kamaze omwezi mulamba nga kabumbujjira ku mpewo za Cbs emmanduso ,nga abamegganyi baanukula ebibuuzo ebikwata ku by’emizannyo.
Gyebigweredde nga Ntege Salimu omuwagizi wa Wakiso Giants ne Uganda Cranes ng’alangiriddwa kubuwanguzi bya Biggwa wamabiggwa 2023 nobuboneero 56.
Sekalongo Moses owa ttimu ya Juventus ne Vipers afunye obuboneero 51 akutte kyakubiri.
Mujjabi Abdul owa SC Villa ne Man United akunganyiza obubonero 42, Kawooya Steven obuboneero 39 sso nga Kawooya Shafiq nga Muzibe awagira Vipers ne Chelsea abussewo nobuboneero 31.
Omuwanguzi wa Bbingwa wa mabbingwa aweereddwa ekyapa kye ttaka okuva mu Nyovu Estate Developers, owokubiri obukadde 2.5 ate owokusatu akakadde kamu ne kitundu ne birabo ebirala.
Ate Bingwa Extra ebaddemu ebibinja, tiimu Katosi omuli Byekwaso Hillary ne Simbwa John Mary bawangudde omutendera gwa Biggwa extra, era bafunye obugoba 46 nga bawagira Man United ne SC Villa.
Baddiriddwa ttimu MK omuli Mayanja Isma ne Kasoma Hassan n’obuboneero 40, bawagizi ba Vipers, Man United, Arsenal ne Kira Young.
Ttiimu Bunga omuli Ssebuliba Alosious ne Mugenyi Jude bakutte kyakusatu nobuboneero 38 bawagizi ba Chelsea, Arsenal, Vipers ne Uganda Cranes.
Ttiimu Lungujja Lubya mubaddemu Ssemuwemba Ali ne Asingwire Hannigton abawagizi ba Chelsea , SC Villa ne Man united.
Bbingwa Tooto yawangulwa Ssennono Simon Claive omuwaguzi wa ttimu ya Vipers Sports Club.
Abawanguzi ba Biggwa extral bawereddwa obukadde 2 abaddiridde 1 sso nga Bbingwa Toto 1.5 ate owokubiiri 1 owokusatu emitwalo 500,000.
Akulira eby’ensimbi ku radio CBS era nga yayogedde kulwolukiiko olufuzi olwa cbs Christopher Bajjabayira, agambye nti Bbingwa wamabbingwa wakwongerwamu ebirungo okwongera okusitula ebitone bya bantu naddala abavubuka.
Wasooseewo emipiira wakati w’abakozi ba CBS ne BBS Terefayina, omulala gubadde wakati w’abasuubuzi mu katale k’e Kibuye n’ake Kajjansi.
Senkulu wa bakitunzi mu tiimu ya Vipers Sports Club Simon Ssekankya Nsubuga yebazizza Ssabasajja Kabaka olwo kutandikawo cbs esitudde ebitone byabantu n’emirimu egyenjawulo.
Abayimbi abenjawulo basanyusizza abantu abetabye abangi ababaddewo nga Bbingwa wa mabbingwa alangirirwa.
Bisakiddwa: Lubega Muda
Ebifaananyi: MK Musa