President wa Uganda Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni alonze eyaliko omumyuka we ,Prof Gilbert Bukenya ng'omuwabuzi we omukulu ku nsonga z'obutonde bwensi n'obuyonjo mu ggwanga. Prof Gilbert BUkenya yali omumyuuka wa...
Ministry ya government ez'ebitundu esuubizza okusuumuusa district ye Wakiso eyongerwe ku nsimbi ezigiweebwa okukira ku district endala okutuuka ku buwumbi bwa shs 21 olw'obunene bwayo n'omuwendo gw'abantu omungi gwerina. Mu...
Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Joel Ssenyonyi, n'ababaka b'oludda oluvuganya government bakonkomalidde ku mulyango oguyingira mu kifo awaziimbibwa eddwaliro lya Lubowa International Super specialized hospital, abakuumawo babagaanyi okutingira okulambula...
Akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga katandiise okutimba enkalala z’abalonzi okwetoloola district ye Dokolo, mu ntegeka y'okuddamu okulonda omubaka omukyala owa district eyo, Eyali omubaka waayo Cecilia Ogwal yava mu bulamu bw'ensi...
Sipiika wa Parliament Anitah Annet Among avudde mu mbeera naagoba ababaka ba parliament bonna n'abakozi ba parliament abatuula ku bukiiko bubiri obwenjawulo abateetaba mu misomo egitegekebwa. Abagobeddwa bebabadde batuula ku ...
Ekibiina kya FDC ekiwayi kya Katonga road kitegese okulonda abakulembeze baakyo abagenda okuweereza mu bitubdu ebyenjawulo. Enteekateeka y’okulondesa ku byalo ne ku district gyebabaddemu ekomekerezebwa nga 15 february,2024, ate Ttabamiruka...
Kooti ye Iganga egobye omukiise w'abavubuka ku lukiiko lwa Iganga municipality Mbeiza Eric ku bukulembeze buno, lwa kugingirira byeyakozesa okumulonda. Omulamuzi Dan Apebbo yaagobye muna NRM Mbeiza mu kifo kyamazeemu...
Ababaka ba parliament 22 boolekedde okufiirwa ebifo byabwe, ku bigambibwa nti ebifo byebakiikirira tebiriiwo mu mateeka. Ku bano kuliko ababaka 10 abakiikirira ebibuga ku mutendera gwa Cities saako municipalities 12....