Abantu 6 basunsuddwa akakiiko k’ebyokulonda mu district ye Dokolo okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa parliament omukyala owa district eno.
Ekifo kino kyasigala kikalu oluvannyuma lweyali omubaka wa district eno Cecilia Ogwal Atim eyali owa FDC okufa mu January wa 2024.
Abasunsuddwa ku lunaku olusoose kuliko Adongo Janet Rose owa NRM, Alwoc Austin Ogwal Rosemary owa FDC ,Aguti Sarah owa UPC , Akullo Esther-Obot atalina kibiina , Ageno Harriet owa NUP saako Lalam Grace Hanna atalina kibiina
Okusunsula kw’abagala ekifo kino kwakumala ennaku bbiri, olwo okunoonya akalulu kutandiike mu butongole ku wednesday nga 13 okutuuka nga 19 March,2024.
Akalulu k’okujjuza ekifo ekyo, kakukubwa ng’ennaku z’omwezi 21 March,2024.#