Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Joel Ssenyonyi, n’ababaka b’oludda oluvuganya government bakonkomalidde ku mulyango oguyingira mu kifo awaziimbibwa eddwaliro lya Lubowa International Super specialized hospital, abakuumawo babagaanyi okutingira okulambula omulimu gw’okuzimba wegituuse.
Mu mwaka 2019 parliament yakkiriza government okwewolera musiga nsimbi Enriqua Pinetti trillion 1 n’obuwumbi 400, okuzimba eddwaliro lino, era nga lyali lyakuzimbibwa mu myaka 3.
Omulimu gwonna gwali gwakukomekerezebwa mu mwaka 2022 wabula gwagenda kugwaako nga tewali kintu kyonna kyali kikoleddwako newankubadde ensimbi zaali zisaasaanyizibwa.
Ababaka booludda oluvuganya government bakedde kibinaanika engato, nabo okwetegereza omulimu gw’okuzimba wegutuuse, wabula bakiguddeko abasirikale abasangiddwa mu kifo ekyo , babagaanyi okuyingirayo, bavuddeyo bakukkuluma.
Omwaka oguwedde 2023, ministry y’ebyobulamu nayo yasaba ensimbi obuwumbi 2 nekitundu nti egenda kuzikozesa okulondoola omulimu gw’okuzimba eddwaliro lino.
Joel Ssenyonyi yewuunyizza ebikusike ebiri mu ddiiru y’okuzimba eddwaliro lino, ng’agamba nti buli lwebagezaako okugendayo tebakkirizibwa
Mu mwaka 2020, ababaka ba parliament ku kakiiko akalondoola ebyobulamu abaali bawerekeddwako minister webyobulamu Dr Jane Ruth Aceng n’omuteesiteesi omukulu mu ministry eno, Dr Diana Atwiine nako kaagaanibwa okuyingira mu kifo ekyo.
Musiga nsimbi Enrique Penetti owa Kampuni ya FINASI yoomu ono governmrnt era gweyali ewadde ddiiru y’okugula n’okusuubula emmwaanyi zonna mu ggwanga.
Mu ngeri yeemu government gweyakolagana naye emwowolere ensimbi trillion 1 n’obuwumbi 400 okuva mu PTA bank, okuzimba eddwaliro eryo erya Lubowa super specialized Hospital, erifuuse gannyana ganywebwa muwangaazi.#