Akakiiko ka parliament akalondoola eby’amateeka kayimirizza mbagirawo okwekeneenya ennongosereza mu ssemateeka w’eggwanga, government zeyagala okuyitamu okugatta obukiiko bw’eggwanga bubiri okuli akalondoola obwenkanya aka Equal Opportinites Commission n’akalondoola eddembe ly’obuntu ka Uganda Human Rights Commisson.
Ttagali avudde ku kakiiko okuzuula nti government ssi nambulukufu ku nsimbi zegenda okutaasa oba okufiirwa mu kugatta ebitongole bino.
Ssaabawolereza wa government ne minister wa ssemateeka ekiwandiiko ekitongole kyebatutte mu kakiiko kano ekimanyiddwanga Certificate of Financial Implication ekinyonyola ebirungi oba obulabe ebbago bweririna ku ggwanika ly’eggwanga ,ababaka bakizudde nti kirimu ebirumira bingi.
Omubaka wa munisipaali ye Kira Ibrahim Ssemujju Nganda ku kiwandiiko ekyo, kwasinzidde naasaba akakiiko kayimirize okwekeneenya ebbago ly’etteeka lino,okutuusa nga government enyonyodde obulabe oba ebirungi bweririna eri ebyenfuna n’eggwanika ly’eggwanga.
Omubaka wa munisipaali ye Bugiri Asuman Basalirwa memba ku kakiiko Kano agambye nti emigozobano egiri mu certificate eyanjuddwa eri akakiiko ,gikosa namabago amalala gonna government geyayanjula mu parliament, mweyagala okuyita okugatta ebitongole byayo ebirala.
Ssabawolereza wa government Kiryoowa Kiwanuka bwabuuziddwa ku nsonga Eno, agambye nti ministry y’ebyensimbi yesobola okunnyonyola ebikwata ku certificate eyo nti kubanga yeyagibawadde.
Amyuka ssentebe w’akakiiko ka parliament ak’amateeka Yusuf Mutembuli egambye nti akakiiko tekasobola kugenda mu maaso nokwekeneenya amabago gano, nga ensonga za certificate eyogerwako tezaanukuddwa.
Omubaka wa munisipaali ye Ntungamo Yonna Musinguzi MunnaNRM ebyokugatta ebitongole bya government abiwakanyiza newankubadde akabondo ka NRM kaasalawo okuwagira enteekateeka eno ,mu nsisinkano gyebaalimu ne ssentebe wekibiina kino era omukulembeze weggwanga gyebuvuddeko.