Ministry ya government ez’ebitundu esuubizza okusuumuusa district ye Wakiso eyongerwe ku nsimbi ezigiweebwa okukira ku district endala okutuuka ku buwumbi bwa shs 21 olw’obunene bwayo n’omuwendo gw’abantu omungi gwerina.
Mu nteekateeka eno mulimu n’okusuumuusa eggombolola ya Wakiso mumyuka etuuke ku mutendera gwa Town Council.
Ssentebe wa district ye Wakiso Dr Matia Lwanga Bwanika ategeezezza Omuwandiisi omukulu mu ministry eno, nti wadde district enteekateeka ezo yazisaba dda n’ebiteeso nebiyisibwa district, wabula ministry ebadde yafuuka kyesirikidde.
Omuteesiteesi omukulu mu ministry ya government ez’ebitundu Benjamin Kumumanya asuubizza nti ensonga zino zigenda kulowoozebwako era zissibwe mu nkola.
Mu ngeri yeemu Benjamin Kumumanya akiikiridde minister wa Government ez’ebitundu Raphael Magyezi akwasizza ba ssentebe b’amagombola mu Wakiso pikipiki 27 zibayambeko mu ntambuza y’emirimu n’okulondoola project za government naddala eya Parish Development Model.
Ba sentebe b’amagombolola nga bakulembeddwamu Mayor wa Kira Division Gerald Kizito bagamba nti newankubadde nga government etandise okubalowoozaako, naye bagala abakulu mu ministry okubaliyirira ensimbi zebabaddenga bakozesa muntambula, wamu n’okubayambako ku kitongole kya URA ekibabinika emagoba olw’okulwaawo okulaga enkozesa y’ensimbi nti ng’ate kiva ku government erwawo okubawa ensimbi okukola emirimu.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo