Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga katandiise okutimba enkalala z’abalonzi okwetoloola district ye Dokolo, mu ntegeka y’okuddamu okulonda omubaka omukyala owa district eyo,
Eyali omubaka waayo Cecilia Ogwal yava mu bulamu bw’ensi eno omwezi oguyise ogwa January,2024.
Ssentebe w’akakiiko ke byokulonda e Dokolo Ngobi Stephen Erikwaine agambye nti omulimu gw’akutimba enkalala gugenda kutwala ennaku 10 zokka.
Okulonda omubaka omukyala owa Dokolo kwakubaayo nga 21 March,2024.
Cecilia Ogwal yali munnaFDC, era ekibiina kyasazeewo okusimbawo muwalawe Dr.RoseMary A.Alwac Ogwal
Bisakiddwa: Lukenge Sharif