Ssaabaduumizi wa police ya Uganda Abbas Byakagaba akyusizza abasirikale 433 okuva mu bifo n'ebitundu ebimu okudda mu birala. Ekyukakyuka zino IGP Byakagaba azikoze mu bitongole okuli; ekitwala eby'emizannyo, ekivunaanyizibwa ku...
Abantu babiri bafiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde e Busega mu Kampala, okumpi n'ettaawo eriri ku luguudo oludda e Kyengera. Akabenje kano kigambibwa nti kavudde ku mmotoka kika kya Sinotruck...
Ssaabasajja Kabaka asiimye naasimbula emisinde gy'amazaalibwa ge ag'e 71, mu lubiri e Mengo. Omutanda emisinde agisiimbudde ku saawa bbiri zennyini ezokumakya, ku Sunday nga 12 April,2026. Gino gy'emisinde egy'omulundi...
Omusajja Christopher Okello Onyum agambibwa okukkakkana ku mabujje nagasanjaga ku ssomero lya Ggaba Early Childhood Development Centre , Makindye Division agguddwako emisango 4. Okello Onyum asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi w'eddaala...
Abantu 8 bafiiridde mu akabenje akagudde mu kitúndu kye Kiteredde mu Karengero mu district ye Lwengo, ebadde eva Rukungiri ng'edda Kampala. Abantu abalala 30 bafunye ebisago nebaddusibwa mu malwaliro agaliranyeewo....