Abantu babiri bafiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde e Busega mu Kampala, okumpi n’ettaawo eriri ku luguudo oludda e Kyengera.
Akabenje kano kigambibwa nti kavudde ku mmotoka kika kya Sinotruck ebadde ewugula abatundira ebikajjo ku mabbali g’oluguudo neremerera omugoba waayo, nasaabala abantu babiri ababade batambulira ku pikipiki nebattirawo.
Abafudde kigambibwa nti babadde bakozi mu kitongole ky’amazzi era nga babadde ku pikipiki ya kitongole.
Aberabiddeko naagabwe bagamba nti Sinotruck eno ebadde ewenyuuka buweewo,era ng’ebadde eyisa emmotoka endala, gyasanze ababadde ku pikipiki nebalinnya.
Police ye Kyengera eggyewo emirambo nejitwala mu ggwanika ly’e ddwaliro ekkulu e Mulago.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif











