Alipoota y’Akakiiko akalafuubanira Obwenkanya mu ggwanga aka Equal Opportunities Commission, eraze nti Obusosoze mu ngabanya y’Obuweereza bwa government bweyongedde ebitagambika, naddala bwekituuka ku Bantu abatamanyiddwa nti banna Uganda, newankubadde mwebawangaalira....
Government kyadaaki esazizzaamu ebyapa byonna ebiri ku ttaka lye Kaazi, obuvunaanyizibwa neerizza eri gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka, liddukanyizibwe ekitongole ki Buganda Land Board. Ekyama kino kibotoddwa ssaabawolereza w’Obwakabaka Owek Christopher...
Minister omubeezi ow'ebyensimbi n'okuteekerateekera eggwanga avunaanyizibwa ku bibiina by'obwegassi Hajji Haruna Kyeyune Kasolo alagidde police ne ba RDC okukwata abawozi b'ensimbi abamanyiddwa nga ba ' money lenders' abatwala ebibanja by'abantu...
Abatuuze n'abavubi ku kiziinga kye Kkirewe mu Lubya town council mu District ye Buvuma bavudde mu mbeera nebanaabira mutuuze munaabwe mu maaso ne bamugoba ku kyalo, bamulanga okweyisa mu ngeri...
Police etandise okunoonyereza ku buvune president w’ekibiina ki National Unity Platform bwafunye, mu kavuvungano akabaddewo wakati w’Abawagizibe ne police e Bulindo mu Kira municipality mu district ye Wakiso leero nga...
Abantu 8 bafudde n'abalala 20 basigadde n'ebisago eby'amaanyi, mu kabenje akagudde e Kabaale Bugonzi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka. Bus kika kya Isuzu ya kampuni ya Jaguar...
Ekereziya Katolika mu Uganda ejaguzza emyaka 50 beddu bukyanga etandikawo enkola eyokukwatagana n'okusinziza mu Bubondo bw'abakristu -Small Christian Communities. Ekijaguzo kino kibadde ku kiggwa kya bajulizi e Bulooli Namugongo. Ekitambiro...
Government ng'eyita mu ministry yebyentambula n'enguudo, eyanjudde ebbago ly'etteeka erigendereddwamu okulungamya ba yinginiya mu ggwanga erituumiddwa The engineers Proffessional Bill 2024. Ebbago ly'etteeka lino ligendereddwamu okuggyawo etteeka ekadde eririwo erya...