Abatuuze n’abavubi ku kiziinga kye Kkirewe mu Lubya town council mu District ye Buvuma bavudde mu mbeera nebanaabira mutuuze munaabwe mu maaso ne bamugoba ku kyalo, bamulanga okweyisa mu ngeri etali ya buntubulamu, nti abadde akuba ebisolo bya bannabwe naabitta.
Ssentebe w’omwalo guno Okalebbo charles ategezeza nti agobeddwa ye Ssalongo Ngiobi, nti ng’abatuuze babadde batutte ekiseera nga bafiirwa ensolo zabwe omuli embizi, enyana, embuzi mu ngeri ezitategerekeka, okutuusa lwebakwatiriza omusajja ono ng’asse embizzi za munne 6 ekyajje Abatuuze mu mbeera era nebamuwa ennaku 7 ayabulire ekyalo.
Mayor wa Lubya Town council Opondo Fred agambye nti abatuuze bamudde nga bemulugunya ku nneyisa ya Ssaalongo Ngoobi mu ngeri gyattamu ensolo zabwe, wabula nga babadde tebamugwiikirizangako lubona, okutuusa lwebaamusanze n’asiimbibwa mu lukiiko lw’ekyalo abatuuze bebamulagira okunonyaako ekibanja awalala.
Bisakiddwa: Ssembatya Ismael