Government ya Uganda eyagala kutandikawo University esomesa eby'emikono ku mutendera gwa certificate, diploma, degree n'ebisingako. Enteekateeka eno eri mu bbago ly'etteeka government lyeyanjudde mu parliament mwegenda okuyita okulungamya okusomesa eby'emikono,...
Nnaabagereka Sylivia Nagginda asabye abakyala okwongera okuvuganya ku bifo by'obukulembeze beyongere okuganyula eggwanga. Nnaabagereka Sylvia Nagginda abadde ku Golf Course Hotel mu Kampala, mu lukungaana lw'Abakyala abegattira mu bibiina ebirwanirira...
Police mu Kampala n’emiriraano eri etandise okunoonyereza ku bubbi bw’ensimbi akawumbi ka shilling kamu n’Obukadde 69, obwakolebwa abagambibwa okubeera abakozi ba kampuni ya G4S Obubbi bwaliwo nga 19 November,2024. Kigambibwa...
Abasonyiyiddwa bawagizi b'ekibiina kya NUP ababadde bakamala mu kkomera emyaka 3 n'emyezi 8 ku alimanda, nga bavunaanibwa emisango gy'okusangibwa n'ebintu by'amagye ate nga ssibamagye. Mu October,2024 baakkiriza emisango egyali gibavunaanibwa...
Abantu babiri bakubiddwa amasasi e Kiwaatule mu gombolola ye Nakawa mu kibuga Kampala, nga Ssabbiiti Barnabas abadde omugoba wa bodaboda afiiriddewo ate Albert Cook Tugume owa mobile money afudde addusibwa...
Bannakibiina kya FDC ekiwayi kye Katonda, batadde government ya Kenya ku nninga ebannyonyole ku ngeri munnabwe Dr.Kiiza Besigye gyeyawambibwamu e Kenya nakomezebwawo e Uganda nga teyeyagalidde. Besigye yawambibwa ku woteeri...
Eyali president wa FDC nga kati y'omu ku bakulembeze b'ekiwayi kya Katonga road Rtd. Dr.Kiiza Besigye asimbiddwa mu kooti y'amagye e Makindye, naggulibwako emisango 4 gy'okugezaako okusekeeterera government n'okutabangula emirembe....
Akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka gwobwa president aka State House Anti-Corruption Unit kakutte omumyuka w'omubaka wa president mu district ye Rukiga Majambere Ivan Kamuntu Ssemakula,ku bigambibwa nti abadde yenyigira...