Omuntu omu atanategeerekeka mannya eyakedde okusaabalila ku mmeeri eya MV Kalangala ebadde eva e Kalangala okudda e Entebbe yesudde mu mazzi naaffa. Omuvubuka ono ateberezebwa okutemera mu myaka egy'obukulu 30...
Abatuuze be Kapeeka mu Luweero bakeeredde mu kutya bwebagudde munnabwe agambibwa okuba nti yawambibwa nga 27 December,2022 nga yasuuliddwa mu kitundu ekyo wabula ng'embeera ye tetegeerekeka wabula ng'ayambaziddwa bulungi. Azuuliddwa...
Abatuuze mu kitundu kye Buloba mu district ye Wakiso bafunye ku buweerero ab'ekitongole ekivunanyizibwa ku bisolo byo munsiko ekya Uganda Wildlife Authority, basitukiddemu okubataasa Engo ebadde ebatadde ku bunkenke. Ab'ekitongole...
Ssabalondoozi w'ebitabo bya government John Muwanga akizudde nti emiti gy'amasanyalaze egyakozesebwa okusaasanya amasannyalaze mu byalo nti gyali gya mutindo gwa wansi nnyo era ng'egisinga gyavunda amasannyalaze teganatongozebwa kukola. Omulimu guno...
Ebyamaguzi bya bukadde bwa nsimbi bitokomokedde mu muliro ogukutte akatale ka Buwenge central market mu district ye JInja. Omuliro gutandise ku ssaawa mwenda mu kiro ekikeesezza leero. Abatuuze ne police...