Enteekateeka y’okubangula bannamagye mu nkola ey’okwagala ensi yabwe, ewomeddwamu omutwe office y’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni n’ekibiina ekigatta Bannamawulire ekya UJA.
Bannamawulire abasoba mu 600 baasunsuddwa okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, bakungaanidde ku Kyambogo University gyebagenda okumala ennaku 6.
Ku lunaku olusookede ddala ba bakeeredde mu kukola muchakamuchaka nga batendekebwa bannamagye, bannamawulire abawerako balabiddwako ng’abayinze obuzito nebemulugunya.
Batandikiddewo okwemulugunya nti tebaasoose kuteekebwateekubwa nti baabadde bakwenyigira mu dduyiro ow’amaanyi, era bangi bagenze okutuuka mu weema gyebabangulirwa nga bakyawejjawejja.
Col.Justus Lukundo okuva e Kawewetta abagambye nti basuubire bingi byebagenda okuyigira mu kutendekebwa kuno okwennaku 6, okugendereddwamu okubasomesa ku ngeri y’okukozesa omulimu gw’amawulire okusitula obulamu bwabwe n’obw’abantu ba bulijjo.
Okutendekebwa kwabannawulire kusuubirwa kuggulibwawo omumyuka wa president Jesca Alupo, ate kuggalibwewo president Yoweri Museven ku lwomukaaga olujja.
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru