Ebyamaguzi bya bukadde bwa nsimbi bitokomokedde mu muliro ogukutte akatale ka Buwenge central market mu district ye JInja.
Omuliro gutandise ku ssaawa mwenda mu kiro ekikeesezza leero.
Abatuuze ne police webatuukidde ng’amuliro gusaasaanye era ng’amadduuka agasoba mu 15 gasanyeewo.
Mubaddemu agatunda angoye, entebe n’ebirabo by’emmere.
Ssentebe w’abasuubuzi mu katale kano aka Jinja market Kamwami peter asabye abakulembeze babwe mu kitundu okubadduukirira.
Omwaka 2017 ne ku nkomerero y’oguwedde 2022 akatale kano kekamu kaakwata omuliro abasuubuzi nebafiirwa emmaali, era abasinga n’okutuuka kati business zaabalema okuzzaawo.
Bisakiddwa: Kirabira Fred