Alipoota ya police ekwata kukutegulula bbomu eraze nti bbomu 6 zezakategululwa police erwanyisa bbomu, nga zino kigambibwa zizze zitegebwa mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo mu nnaku 2. Okutega kwa bbomu...
Abantu 13 nga banju emu ku kyalo Kigaaju e Lwabenge mu district y'eKalungu baddusiddwa mu ddwaliro lya Kyamuliibwa Health Centre IV ku bigambibwa nti baaweereddwa obutwa. Ekizibu kino kigudde mu...
Police eggadde oluguudo oluva e Busega okudda e Nateete mu kibuga Kampala, ng'eteekateeka okutegulula bbomu egambibwa okuba nti yategeddwa okumpi ne police ye Nateete. Ekintu ekiteeberezebwa okuba bbomu kigambibwa okuba...
Abakulembeze mu District okuli Buduuda, Bulamburi saako District endala ezikosebwa okubumbuluka kw'ettaka ku lusozi Masaaba basobeddwa ekyókukola, olw'abantu mu bitundu bino abakyagaanye okuwebwa ensimbi obukadde 10m ne yiika y'ettaka okuva...
Wabaddewo obunkenke n'akasattiro ku kanisa y’omusumba Robert Kayanja eya Lubaga Miracle center mu Lubaga, wakati ng’abakkiriza bali mu kusaba, ab’eby’okwerinda bwebazinzeeko ekifo kino, okukwata agambibwa okuba omutujju abadde ateekateeka okukuba...
Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze be Lwannume mu gombolola ye Kyamuliibwa mu district ye Kalungu bagudde ku mirambo gy'abaana babiri abateeberezebwa okuba nga battiddwa butibwa, omulala basanze ataawa. Abafudde kuliko omuwala n'omulenzi...
Government etabaddewo akakiiko ak'ekiseera akabakugu okwetegereza enteekateeka y'okuleeta digital number plates mu Uganda, egambibwa okuba nti yetobeseemu vvulugu mungi. Saabaminister wa Uganda Robinah Nabbanja agambye nti akakiiko kano kaliko byekagenda...
Munnamawulire wa Cbs ku mukutu gwa Cbs Emmanduso 89.2, Kiyengo David, awangudde engule ey'omusasi w'amawulire asinze mu Uganda okukola amawulire agakwata ku byobulimi. Empaka zino eza Uganda National Journalists Awards...
Abavubuka abakunukkiriza mu 200 banunuddwa amagye ne police mu kikwekweto ekikoleddwa ku kyalo Nampunge mu gombolola ye Kakiri mu District ye Wakiso. Kigambibwa nti babadde bagibwako ensimbi eziri wakati wa...