Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze be Lwannume mu gombolola ye Kyamuliibwa mu district ye Kalungu bagudde ku mirambo gy’abaana babiri abateeberezebwa okuba nga battiddwa butibwa, omulala basanze ataawa.
Abafudde kuliko omuwala n’omulenzi nga batemera wakati w’emyaka 5 – 7, emirambo gyabwe nebagisuula wansi w’omuti gw’omuyembe.
Asangiddwamu ng’akyalimu akalamu wa myaka 2, addusiddwa mu ddwaliro, nadda bulungi engulu.
Omusawo Nabalayi Shamim agyanjabye omwana agambye nti bamuwadde obujanjabi obusookerwako n’eddagala erivumula obutwa, olwokwekengera nti banne bandiba nga bafudde butwa.
Akulira ebyokwerinda mu district ye Kalungu DR. Paddy Kayondo agambye nti ekikolwa kino eky’ekko kyandiba kirabika kyakoleddwa lwabutabanguko mu
maka nasaba abazadde bwebafuna obutakaanya tebatekamu baana.
Emirambo gy’abaana gitwaliddwa mu ggwanika e Masaka nga police
bweyeyongera okunoonyereza ku bikwata ku baana bano.
Bisakiddwa : Kato Paul