Police eggadde oluguudo oluva e Busega okudda e Nateete mu kibuga Kampala, ng’eteekateeka okutegulula bbomu egambibwa okuba nti yategeddwa okumpi ne police ye Nateete.
Ekintu ekiteeberezebwa okuba bbomu kigambibwa okuba nti kyategeddwa mu kifo ekimanyiddwa nga ku Mabiito, era poliisi ebadde yebulunguludde ekifo kyonna.
Abantu 3 bakwatiddwa okuli abasajja 2 n’omukazi omu, abasangiddwa mu kamu ku buyumba obuli mu kifo ekyo.
Police yasoose kuzuula bbomu eyabadde etegeddwa ku kanisa ya Miracle Centre eya pastor Robert Kayanja.
Omuvubuka eyakwatiddwa nga yeyabadde atambuza bbomu eyo yategezeezza nti waliwo ne banne abalala 3 abaabadde balina bbomu zebateekateeka okutega mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Kigambibwa nti bbomu endala yategeddwa mu bitundu bye Zana police nayo gyegenze n’egitegulula.#